Joshua 13:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yali awadde ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, kwe kugamba ekyokubiri ky'ekika ky'abazzukulu ba Manasse, omugabo ng'agoberera amasiga gaabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’awa ekitundu ky’ekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buno bwe butaka Musa bweyagabira ekitundu eky'ekika kya Manase obuvanjuba bw'omugga Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lino lye ttaka Musa lye yawa ab'ennyumba ez'omu kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agabira ekitundu eky'ekika kya Manase: n'omugabo gwali gwa kitundu eky'ekika ky'abaana ba Manase ng'enda zaabwe bwe zaali.