Joshua 13:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuva ku mugga Sikori ebuvanjuba wa Misiri, okutuuka ku nsalo ya Ekuroni emambuka, ensi ebalibwa ng'ey'Abakanaani ey'abafuzi abataano Abafilisitiini, e Gaza, Asudodi, Esukeroni, Gati, ne Ekuroni; Abavvi bali emaserengeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuva ku mugga Sikoli, oguli ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo n'Ekuloni mu bukiikakkono, ebalibwa okuba ey'Abakanani era efugibwa abaami abataano (5) ab'Abafirisuuti; Abe Gaza, abe Asudodi, abe Abasukuloni, abe Gitti, n'Abekuloni;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuva ku Mugga Sihori, ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku nsalo ne Sihori mu bukiikakkono, ekibalibwa okuba eky'Abakanaani era ekifugibwa abakungu abataano Abafilistiya, ababeera e Gaaza, ne Asudoodi ne Asukelooni, ne Gaati ne Ekurooni, n'ekitundu kyonna eky'Abavvimu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuva ku Sikoli, oguliraanye e Misiri, okutuuka ku nsalo ey'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ebalirwa Abakanani; abaami abataano ab'Abafirisuuti; Abagaza, n'Abasudodi, n'Abasukuloni, Abagitti, n'Abekuloni;