Joshua 13:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bafuna ekitundu okuva e Makanayimu, Basani yenna, obwali obwakabaka bwa Ogi, kabaka wa Basani, ebyalo byonna ebya Yayiri ebiri mu Basani; byonna awamu bye bibuga nkaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensalo yaabwe ng’eya Makanayimu, n’eyita mu Basani n’obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n’ebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Makanayimu, n'ekitwaliramu Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byonna enkaaga (60) ebya Yayiri, ebyali mu Basani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Mahanayimu ne kitwaliramu Basani yonna, eyali obwakabaka bwa Ogi kabaka wa Basani, n'ebyalo byonna enkaaga ebya Yayiri ebiri mu Basani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo yaabwe yava ku Makanayimu, e Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n'ebibuga byonna bya Yayiri, ebiri mu Basani; ebibuga nkaaga: