Joshua 13:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyokubiri ekya Gileyaadi, Asutaroti ne Edureyi, ebyali ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byaweebwa ekyokubiri ky'ab'essiga lya Makiri, mutabani wa Manasse, ng'agoberera amasiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani byali b’abaana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu eky’abaana ba Makiri ng’enju zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kyatwaliramu ekitundu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, n'ebibuga byonna eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, ebyali eby'abaana ba Makiri mutabani wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyazingiramu ekitundu ekimu ekyokubiri ekya Gileyaadi awamu ne Asitarooti ne Edereyi, ebibuga ebikulu eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani. Ebyo byonna byaweebwa ekimu ekyokubiri eky'ab'ennyumba z'abasibuka mu Makiri, omwana wa Manasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekitundu ekimu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byali bya baana ba Makiri omwana wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.