Joshua 13:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa busika, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli yennyini bwe busika bwabwe, nga bwe yali abagambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa butaka; Mukama, Katonda wa Isiraeri, gwe mugabo gwabwe, nga Mukama weyalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'Ekika kya Leevi, Musa teyabawa ttaka libe lyabwe. Yabagamba nti omugabo ogwabwe banaagufunanga ku biweebwayo eri Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa busika: Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.