Joshua 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yonna ey'Abakanaani okuva ku Ara eky'Abasidoni, okutuuka ku Afeki, ne ku nsi y'Abaamori,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna ey’Abakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey’Abamoli,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'Abavi, ku luuyi olw'obukiikaddyo; eyo y'ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala eky'Abasidoni, okutuukira ddala ku Afiki, ku nsalo n'Abamoli;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu bukiikaddyo. Wakyaliwo n'ensi yonna ey'Abakanaani, ne Meyara eky'Abasidoni, okutuuka ku Afeki ku nsalo n'Abaamori;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'abavi, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala ekyali ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey'Abamoli: