Joshua 13:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ensi y'Abagebali wamu n'ensi yonna eya Lebanoni ebuvanjuba, okuva ku Baali-Gaadi, wansi w'olusozi Kerumoni okutuuka ku Lebo-Kamati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ensi y’Abagebali, ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi ekiri wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka awayingirirwa e Kamasi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ensi y'Abagebali, ne Lebanooni yonna ebuvanjuba, okuva e Baalugaadi, wansi w'Olusozi Herumooni, okutuuka ku Muwaatwa gw'e Hamati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka ku Kamasi awayingirirwa: