Joshua 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bonna abatuuze b'omu nsozi okuva ku Lebanoni okutuuka ku Misurefoti-Mayimu, kwe kugamba abatuuze bonna Abasidoni, abo nze nzija kubagobawo mu maaso g'Abayisirayeli. Ggwe ensi gigabanyizeemu Abayisirayeli ku kalulu ng'obusika nga bwe nakulagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna abali mu nsi ey'ensozi okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be ba Sidoni bonna; ndibagoba ng'abaana ba Isiraeri balaba; kyokka ensi yabwe ogigabire abaana ba Isiraeri okuba obutaka, nga bwe nnakulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ab'omu nsi ey'ensozi, okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefaati Mayimu, n'Abasidoni bonna, nja kubagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli balaba, naye ggwe ogiwe Abayisirayeli ebe yaabwe, nga bwe nakulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abali mu nsi ey'ensozi bonna okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be Basidoni bonna; abo ndibagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri; kyokka ogigabire Isiraeri okuba obusika, nga bwe nnakulagira.