Joshua 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebika ekya Rubeni ne Gaadi wamu n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baali bafunye obusika okuva ku Musa, nga Musa omuweereza w'Omukama bwe yali abubawadde ebuvanjuba wa Yorudani:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu eky'okubiri eky'Ekika kya Manase, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa obuvanjuba bw'Omugga Yoludaani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekika kya Rewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, byali bimaze okufuna ebitundu ebyabyo, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awamu n'oyo Abalewubeeni n'Abagaadi baaweebwa obusika bwabwe, Musa bwe yabawa, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa;