Joshua 13:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'Ekiwonvu Arunoni, okuva ku kibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu n'otwaliramu n'emiseetwe gyonna egy'e Medeba okutuusa e Diboni,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu ekyo kiva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuukira ddala ku Diboni;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kyabwe kyali kiva ku Aroweri ekiri ku mabbali g'Ekiwonvu ekya Arunoni, n'ekibuga ekiri mu makkati g'ekiwonvu ekyo, ne kizingiramu n'omuseetwe ogw'e Medeba, okutuuka ku nsalo ne Ammoni,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni;