Joshua 14:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye bitundu Abayisirayeli bye baafuna ng'obusika mu nsi y'e Kanaani, ebyabaweebwa Eleyazari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuunu n'abakulu b'amasiga mu bika bya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buno bwe butaka; Eriyazaali kabona, Yoswa, mutabani wa Nuuni, n'abakulu be bika; bwe bagabira abaana ba Isiraeri mu nsi ya Kanani,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bitundu Abayisirayeli bye baagabana mu nsi y'e Kanaani, Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni n'abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli bye baabagabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne buno bwe busika abaana ba Isiraeri bwe baalya mu nsi ya Kaaani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuni, n'emitwe gy'ennyumba eza bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baabagabira,