Joshua 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzuuno n'okutuusa ku lunaku lwa leero Omukama ankuumye nga nkyali mulamu, nga bwe yansuubiza. Emyaka giri ana mu etaano kasookedde Omukama agamba Musa kigambo ekyo. Olwo Yisirayeli yali akyabungeetera mu ddungu; kati ndi wa myaka kinaana mu etaano egy'obukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano, giweze emyaka ana mu etaano (45), kasookedde Mukama agamba Musa ebigambo ebyo. Mu biseera ebyo Isiraeri yali ekyatambulira mu ddungu. Era Mukama ankumye nga ndi mulamu nga bweyasuubiza, kati mpezeza emyaka kinaana mu etaano (85).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano, laba emyaka giweze amakumi ana mu etaano, Mukama bukya agamba Musa ebigambo ebyo. Olwo Yisirayeli yali ekyatambula mu ddungu. Era Mukama ankuumye nga ndi mulamu nga bwe yasuubiza. Laba, ndi wa myaka kinaana mu etaano,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano, laba, Mukama ampangaazizza, nga bwe yayogera, emyaka gino amakumi ana mu etaano, okuva ku biro biri Mukama lwe yakigamba Musa ekigambo ekyo, Isiraeri bwe yatambuliranga mu ddungu: ne kaakano, laba, leero naakamala emyaka kinaana mu etaano.