Joshua 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kati nkyali wa maanyi nga luli Musa lwe yansindika okuketta; nkyalina amaanyi agatabaala, ag'okugenda n'okudda, nga bwe nagalina na luli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako, nkyasobola okulwana oba okukola ekintu ekirala kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era kaakano nkyali wa maanyi nga ku lunaku luli Musa lwe yantumirako. Nkyalina amaanyi okulwana mu lutalo oba okukola ekirala kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutuusa kaakano nnina amaanyi leero nga bwe nnalina ku lunaku luli Musa lwe yantuma: ng'amaanyi gange bwe gaali mu biro biri, amaanyi gange bwe gali kaakano bwe gatyo, okulwana n'okufuluma n'okuyingira.