Joshua 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mpa ensi eno ey'ensozi Omukama gye yansuubiza luli. Naawe wawulira nti eriyo Abaanaki, nti n'ebibuga byabwe binene okuli n'ebigo. Omukama ng'annyambye nzija kubagobawo, nga bwe yagamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ng’Abanaki kwe baali n’ebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki bwe baali mu bibuga ebinene ebiriko ebigo, osanga Mukama anaabeera nange, ne mbagobamu, nga Mukama bwe yayogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mpa ekitundu kino eky'ensozi, Mukama kye yayogerako ku lunaku luli, kubanga ku lunaku olwo wawulira nga Abaanaki be baaliyo mu bibuga ebinene ebyaliko ebigo. Osanga Mukama anaabeera nange ne mbagobamu, nga Mukama bwe yagamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki mwe baali, n'ebibuga ebinene ebiriko ebigo: wozzi Mukama alibeera nange, nange ndibagoba, nga Mukama bwe yayogera.