Joshua 14:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Keburoni edda kyayitibwanga Kiriyati-Aruba, nga bakibbudde mu Aruba, eyali omusajja omwatiikirivu ennyo mu Baanaki. Awo ensi n'eweerako ku ntalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki. Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edda Kebbulooni kyayitibwanga Kiriasualaba, Aluba oyo ye yali asinga obukulu mu ba Anaki. Awo ensi n'ewummula entalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edda Heburooni kyayitibwanga Kibuga kya Aruba. Aruba oyo ye yali asinga obukulu mu Baanaki. Awo ensi n'ewummula entalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'erinnya lya Kebbulooni edda lyali Kiriasualuba; Aluba oyo yali mukulu mu Banaki. Ensi n'ewummula okulwana.