Joshua 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusika bwabwe baabugabira ebika omwenda n'ekitundu ku kalulu, nga Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olw’ebika omwenda n’ekitundu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutaka buno bwagabirwa ebika omwenda n'ekitundu nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebitundu ebyaweebwa ebika omwenda n'ekitundu, byagabibwa nga bakuba kalulu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu kalulu ak'obusika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa, eri ebika omwenda n'ekitundu eky'ekika.