Joshua 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yozefu bo baali bakoze ebika bibiri: Manasse ne Efurayimu. Abaleevi tebaafuna mugabo mu nsi, wabula ebibuga mwe banaabeera n'ebitundu ebiriraanyeewo balundiremu ensolo zaabwe n'amagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu, bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka eby’okubeeramu, n’ensiko ey’okulundiramu ebisibo byabwe n’ebintu byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bo abaana ba Yusufu bavaamu ebika bibiri, ekya Manase ne Efulayimu; Abaleevi bo tebaweebwa butaka wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Yosefu baavaamu ebika bibiri: Manasse ne Efurayimu. Bo Abaleevi tebaaweebwa mugabo gwa ttaka, wabula ebibuga eby'okubeerangamu. Baaweebwa n'ebyalo ebyetoolodde ebibuga ebyo, bakuumirengamu amagana gaabwe n'ebintu byabwe ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Yusufu baali ebika bibiri, Manase ne Efulayimu: ne batabawa mugabo mu nsi Abaleevi, wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye, ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.