Joshua 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga Omukama bwe yali alagidde Musa, n'Abayisirayeli bwe baakola, ne bagabanya mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baagabana ensi eyo nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga Mukama bwe yalagira Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo, ne bagabana ensi.