Joshua 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yuda bajja eri Yoswa e Gilugali, Kalebu mutabani wa Yefunne Omukenizzi n'amugamba nti: “Omanyi Omukama kye yagamba Musa omuntu wa Katonda e Kadesi-Baruneya ku ggwe nange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lumu ab'omu kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa e Girugaali. Kalebu omu kubo mutabani wa Yefune Omukenizi, n'agamba Yoswa nti, “ Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa omuddu wa Katonda mu Kadesubanea ekikwata ku nze naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abamu ku b'omu Kika kya Yuda ne bajja eri Yoswa mu Gilugaali. Kalebu, mutabani wa Yefunne, Omukenizi n'agamba Yoswa nti: “Omanyi Mukama kye yagamba Musa omuntu wa Katonda mu Kadesibaruneya, ekikwata ku nze naawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa mu Girugaali: ne Kalebu, omwana wa Yefune Omukenizi, n'amugamba nti Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa ku nze ne ku ggwe mu Kadesubanea.