Joshua 14:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nali wa myaka amakumi ana egy'obukulu, Musa omuweereza w'Omukama bwe yantuma okuva e Kadesi-Baruneya okuketta ensi. Namubuulira ebintu nga bwe nabiraba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nali mpeza emyaka ana (40). Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; naamuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe byali ku mutima gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesibaruneya okuketta ensi eno, nali mpeza emyaka amakumi ana egy'obukulu. Namuleetera amawulire ag'ebintu nga bwe nabiraba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nali naakamala emyaka amakumi ana. Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; ne mmuleetera ebigambo nga bwe kyali mu mutima gwange.