Joshua 14:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye baganda bange abaagenda nange ne batekemula emitima gy'abantu. Nze ku lwange nagoberera Omukama Katonda wange n'omutima gwange gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye baganda bange benagenda nabo ne batiisa abantu, wabula nze nnagobererera ddala Mukama Katonda wange kyayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bannange be nagenda nabo, ne baleetera abantu baffe okutya. Naye nze nakolera ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye baganda bange abaalinnya nange ne basaanuusa omutima gw'abantu: naye nze nagobererera ddala Mukama Katonda wange: