Joshua 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Musa yeeyama nti: ‘Ensi ekigere kyo kwe kirinnye eriba yiyo ggwe n'abaana bo emirembe gyonna, kubanga wagoberera Omukama Katonda wange n'omutima gwo gwonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo n’abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Musa nandayirira nga agamba nti, ‘nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange kyayagala, ekitundu ky'ensi kyolinyemu ekigere kyo kye kiriba obutaka bwo gwe n'abaana bo emirembe gyonna.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'andayirira ku lunaku olwo nti: ‘Nga bw'okoledde ddala ekyo Mukama Katonda wange ky'ayagala, ekitundu ky'ensi ky'olinnyeemu ekigere kyo, kiriba kikyo ggwe n'abaana bo ennaku zonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alayira ku lunaku luli, ng'ayogera nti Mazima ensi gy'olinnyeemu ekigere kyo eriba busika eri ggwe n'eri abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogobereredde ddala Mukama Katonda wange.