Joshua 15:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitundu bazzukulu ba Yuda kye baagabana mu masiga gaabwe nga kisimba ku nsi ya Edomu ne ku ddungu Zini ng'otunuulidde emaserengeta ddala eri emaserengeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugabo gw’abaana ba Yuda ng’enju zaabwe bwe zaali bwe baakuba akalulu, baaweebwa ekitundu okutuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku nkomerero y’oluuyi olw’obukiikaddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutaka akalulu kebwawa ekika kya Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali bwatuuka ku nkomerero ye ddungu lya Zini, mu bukiikaddyo, ku nsalo ne Edomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu akalulu kye kaawa ab'ennyumba ez'omu Kika kya Yuda, kyatuuka ku nkomerero y'eddungu ly'e Ziini mu bukiikaddyo, ku nsalo ne Edomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akalulu ak'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali kaatuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, ku nkomerero ey'obukiika obwo.