Joshua 15:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne zigendera ddala ku buserengeto bwa Ekuroni obw'emambuka, awo ne ziweta okulaga e Sikkeroni, ne ziyita kumpi n'olusozi Baala, ne zigguka e Yabuneeli, ne zikoma ku Nnyanja Ennene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’egenda ku mabbali ag’e Ekuloni mu bukiikakkono, n’ekka ku Sikkeroni n’etuuka ku lusozi Baala, n’ekoma ku Yabuneeri, ne ku nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensalo n'eyita ku mabbali g'ebukiikakkono obw'Olusozi Ekuloni, n'ewetamu n'eyolekera Sikkeroni, n'eyita Lusozi Baala, n'etuuka ku Yabuneeri; n'ekoma ku Nnyanja Eyawakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo n'eyita ku mabbali g'ebukiikakkono obw'Olusozi Ekurooni, n'ewetamu n'eyolekera Sikkerooni, n'eyita ku Lusozi Baala, n'etuuka ku Yabineeli, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensalo n'ebuna amabbali ag'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: ensalo n'ereetebwa ku Sikkeroni, n'eyita n’etuuka ku lusozi Baala, n'ekoma ku Yabuneeri; n'enkomerero z'ensalo zaali ku nayanja.