Joshua 15:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olubalama lw'Ennyanja Ennene ebugwanjuba ye nsalo. Ezo ze nsalo okwetooloola abazzukulu ba Yuda mu masiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo ey’ebugwanjuba yali Ennyanja Ennene n’olubalama lwayo. Eyo ye yali ensalo y’abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng’enju zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyanja eyo n'eba ensalo ey'ebugwanjuba. Ezo ze nsalo ezeetoolodde enjuyi zonna ez'ekitundu ekyaweebwa ekika kya Yuda nga enda zabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ennyanja eyo n'eba ensalo ey'ebugwanjuba. Ezo ze nsalo ezeetooloodde enjuyi zonna ez'ekitundu ekyaweebwa ab'ennyumba za Yuda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo ey'ebugwanjuba yatuuka ku nnyanja ennene, n’ensalo yaayo. Eyo ye nsalo ey'abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng'enda zaabwe bwe zaali.