Joshua 15:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa ng'agoberera Omukama bye yali amulagidde, yaddira ekitundu ekimu eky'abazzukulu ba Yuda, kye kibuga Kiriyati-Aruba, oba Keburoni, n'akiwa Kalebu mutabani wa Yefunne. Aruba ye yali kitaawe wa Anaki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'awa Kalebu mutabani wa Yefune omugabo mu b'Ekika kya Yuda, nga Mukama bwe yamulagira. N'amuwa Kiriasualaba ye Kebbulooni, Aluba oyo yali kitaawe wa Anaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'awa Kalebu mutabani wa Yefunne omugabo mu b'Ekika kya Yuda, nga Mukama bwe yamulagira. N'amuwa Heburooni, ekibuga kya Aruba kitaawe wa Anaki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Kalebu omwana wa Yefune n'amuwa omugabo mu baana ba Yuda, nga Mukama bwe yalagira Yoswa, ye Kiriasualuba, Aluba oyo yali kitaawe wa Anaki (ye Kebbulooni).