Joshua 15:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kalebu n'agamba nti: “Omusajja anaalumba n'awamba Kiriyati-Seferi, nnaamuwa muwala wange Akusa abeere mukazi we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kalebu n’agamba nti, “Anaakuba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa amuwase.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kalebu n'ayogera nti anaawamba Kiriasuseferi n'amuwa Akusa muwala wange okumuwasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kalebu n'agamba nti: “Omusajja anaalumba Kiriyati Seferi n'akiwamba, nja kumuwa muwala wange Akusa amuwase.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kalebu n'ayogera nti Anaakuba Kiriasuseferi n'akimenya, oyo naamuwa omuwala wange Akusa okumuwasa.