Joshua 15:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Akusa bwe yajja ewa Otunyeli, bba n'amupikiriza asabe kitaawe ekibanja. Bwe yabuuka ku ndogoyi, Kalebu n'amubuuza nti: “Oyagala nkukolere ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yajja gy’ali, n’amugamba asabe kitaawe ennimiro. Bwe yava ku ndogoyi ye, Kalebu n’amubuuza nti, “Kiki kyoyagala nkukolere?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akusa bwe yajja eri Osunieri n'amukuutira asabe kitaawe amuwe ennimiro, awo Akusa n'ava ku ndogoyi ye. Kalebu n'amubuuza nti, “Oyagala ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akusa bwe yajja eri Ofiniyeeli, n'amukuutira asabe kitaawe amuwe ekibanja. Akusa n'ava ku ndogoyi ye. Kalebu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, bwe yajja gy'ali, n'asabisa kitaawe olusuku: n'ava ku ndogoyi ye; Kalebu n'amugamba nti Oyagala ki?