Joshua 15:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala n'amuddamu nti: “Ngirira ekisa. Nga bwe wampa ettaka mu Negevu, mpeerako n'enzizi z'amazzi.” Bw'atyo Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addamu nti, “Nsaba onnyambe nga bwe wampa ettaka mu Negebu, ompe n’ensulo z’amazzi.” Kalebu n’amuwa ensulo ez’engulu n’ez’emmanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akusa n'addamu nti, “Njagala ompe ekirabo, nga bw'ompadde ensi enkalu, era mpa n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi e'zengulu n'ez'emmanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akusa n'addamu nti: “Njagala ompe ekirabo. Nga bw'ompadde ensi enkalu, era mpa n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mpa omukisa; kubanga ontadde mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, era mpa n'enzizi ez'amazzi. N'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.