Joshua 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne zigendera ddala okuyita wansi w'akasozi ke Akurabbimu, ne zeeyongerayo e Zini, ne zambuka okutuuka mu maserengeta ga Kadesi-Baruneya, ziizo ne ziyita ku Kezuroni, ate ne zambuka e Addari, ne ziweta okudda e Karuka;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’esala wansi w’ekkubo eririnnya ku Akkulabimu n’eyita okutuuka ku Zini n’erinnya okuyita wansi wa Kadesubanea, n’eyita kumpi ne Kezulooni, n’erinnya ku Addali, n’ekyamira ku Kaluka;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
neyeyongerayo ku luuyi olw'obukiikaddyo obw'ekkubo eridda e Akulabbimu, neyeyongerayo okutuuka e Zini, neyambuka mu bukiikaddyo obwa Kadesubanea, n'eyita kumpi ne Kezulooni, n'eyeyongerayo ku Addali, n'ekyamira ku Kaluka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne yeeyongerayo mu bukiikaddyo, okuva ku Muwaatwa gw'e Akurabbimu, okutuuka ku Ziini, n'eyita mu bukiikaddyo obwa Kadesibaruneya, n'eyita kumpi ne Hezirooni n'etuuka ku Addari, n'ekyamira ku Karuka;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebuna ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka ku Zini, n'erinnya ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olwa Kadesubanea, n'eyita kumpi ne Kezulooni, n'erinnya ku Addali, n'ekyamira ku Kaluka: