Joshua 15:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asudodi, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo, Gaza, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo, okutuuka ku Kiwonvu Misiri ne ku lubalama lw'Ennyanja Ennene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asudodi, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n’ebyalo byakyo okutuuka ku mugga ogw’e Misiri, n’ennyanja ennene, n’ensalo yaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo Asudodi, ebibuga n'ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga n'ebyalo byakyo nga bituukira ddala ku mugga ogw'e Misiri ne ku lubalaza lw'ennyanja eyawakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo Asudoodi, ne Gaaza n'obubuga bwabyo n'ebyalo byabyo, okutuuka ku mugga gw'oku nsalo ne Misiri, ne ku lubalama lw'Ennyanja Eyaawakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asudodi, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo: okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'ennyanja ennene, n'ensalo yaayo.