Joshua 15:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo ebuvanjuba ye Nnyanja ey'Omunnyo okutuuka ku Yorudani w'ayiira mu nnyanja. Ensalo ez'emambuka zitandikira ku kyondo ky'Ennyanja Yorudani w'ayiira mu nnyanja,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensalo yaabwe ey’obuvanjuba yali nnyanja ey’obukiikakkono. Kyali kikono kya Yoludaani we guyiyira ku Nnyanja ey’Omunnyo. N’ensalo ey’obukiikakkono kyali kikono kya nnyanja Yoludaani we guyiyiramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensalo ey'ebuvanjuba yali Nnyanja ya Munnyo, okutuuka Omugga Yoludaani we guyiira mu nnyanja eyo. N'ensalo ey'oludda olw'ebukiikakkono nga eva ku kikono ky'ennyanja okutuuka omugga Yoludaani we guyiira mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo ey'ebuvanjuba yali Nnyanja ya Munnyo, okutuuka Omugga Yorudaani we guyiira mu nnyanja eyo. N'ensalo ey'oludda olw'ebukiikakkono,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo ey'ebuvanjuba yali nnyanja ya munnyo, okutuuka Yoludaani we gufukira. N'ensalo ey'oluuyi olw'obukiika obwa kkono yava ku kikono eky'ennyanja Yoludaani we gufukira: