Joshua 15:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne zambuka nga zigoba Ekiwonvu Beni-Yinnomu, ku buserengeto obw'emambuka obw'ekibuga ky'Abayebusi, oba Yeruzaalemu. Bwe ziva awo ne zambuka ku ntikko y'olusozi ebuvanjuba bw'Ekiwonvu Yinnomu emambuka ddala ekiwonvu Refayimu we kikoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ensalo n'eyita mu Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ku ludda olw'ebukiikaddyo obw'olusozi, okwali Yerusaalemi ekibuga eky'Abayebusi. Ensalo n'eyambuka ku ntikko y'olusozi, olutunuulidde ekiwonvu kya Kinomu ku ludda olw'ebugwanjuba, ku nkomerero y'Ekiwonvu kya Lefayimu ey'omu bukiikaddyo obwa kkono;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ensalo n'eyita mu Kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu, ku ludda olw'ebukiikaddyo obw'olusozi, okwali Yerusaalemu, ekibuga ky'Abayebusi. Ensalo n'eyambuka ku ntikko y'olusozi olutunuulidde ekiwonvu kya Hinnomu, ku ludda olw'ebugwanjuba, ku nkomerero y'Ekiwonvu kya Refayiimu ey'omu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensalo n'erinnya mu kiwonvu eky'omwana wa Kinomu n'etuuka ku muyegooyego ogw'omu Yebusi ku luuyi olw obukiika obwa ddyo (ye Yerusaalemi): ensalo n'erinnya kn ntikko ku lusozi oluli awakkirwa mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw'ebugwanjuba, ekyali mu nkomerero ey'ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: