Joshua 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yozefu, omugabo gwabwe akalulu gwe kaabawa, kye kitundu okuva ku Yorudani ebuvanjuba w'omugga, e Yeriko, ne kyambuka okuyita mu ddungu, ne kituuka mu nsi y'e Beteli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’omugabo gw’ettaka ly’abaana ba Yusufu ne guva ku Yoludaani awali Yeriko ku ludda olw’ebuvanjuba olw’amazzi g’e Yeriko, okutuuka mu ddungu, n’erinnya okuva e Yeriko n’eyita mu nsi ey’ensozi n’etuuka e Beseri
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalulu bwe kakubwa abaana ba Yusufu ne baweebwa obutaka bwabwe, nga buva ku mugga Yoludaani kumpi ne Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eriva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka e Beseri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo ey'omu bukiikaddyo ey'ekitundu ekyaweebwa bazzukulu ba Yosefu mu kalulu, yatandikira ku Mugga Yorudaani okumpi ne Yeriko ebuvanjuba w'ensulo z'amazzi ez'e Yeriko, n'eraga mu ddungu. N'egenda okuva e Yeriko okwambuka mu nsi ey'ensozi, okutuuka e Beteli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akalulu ak'abaana ba Yusufu kaava ku Yoludaani Yeriko we kiri, ku mazzi ag'e Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eririnnya nga liva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka ku Beseri;