Joshua 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'ekika kya Efurayimu tebaagobawo Bakanaani abaabeeranga e Gezeri. Abakanaani abo n'okutuusa ku lunaku lwa leero babeera wamu n'abaana be Efurayimu, naye nga bassibwa ku mirimu gy'akasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula tebaagoba Bakanani abaali mu Gezeri, baasigala wakati mu Efulayimu n’okutuusa leero nga balimu ng’abaddu nga bakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tebagobamu Bakanani abaali mu Gezeri: wabula Abakanani ne babeera wamu nab'Efulayimu, okutuusa kati, ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka tebaagobamu Bakanaani abaali mu Gezeri. Awo Abakanaani ne babeera wamu n'Abeefurayimu n'okutuusa kati, era ne bafuuka abaddu okukolanga emirimu egibalagirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batagoba Bakanani abaali mu Gezeri: naye Abakanani ne babeera wakati mu Efulayimu, ne kaakano, ne bafuuka abaddu okukola emirimu emiragire.