Joshua 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne kiserengeta ebugwanjuba mu nsi y'Abayafuleti okutuukira ddala mu kitundu kya Beti-Koroni ekya wansi, bwe kityo okutuuka e Gezeri, ne kikoma ku nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’okukka ku luuyi olw’ebugwanjuba ku nsalo ey’Abayafuleti ku nsalo ey’e Besukolooni eky’emmanga ku Gezeri n’ekoma ku nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensalo n'ekka ku luuyi olw'ebugwanjuba okutuuka ku nsalo ey'Abayafuleti, neyeyongerayo okutuukira ddala e Besukolooni eky'emmanga, okuva awo neyeyongerayo okutuuka e Gezeri n'ekoma ku nnyanja eyawakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ensalo n'ekka ku ludda olw'ebugwanjuba, okutuuka ku nsalo n'Abayafuleeti, okutuukira ddala ku kitundu ky'e Betooroni ekya wansi. Okuva awo ne yeeyongerayo okutuuka e Gezeri, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne kakka ku luuyi olw'ebugwanjuba ku nsalo ey'Abayafuleti, ku nsalo ey'e Besukolooni eky'emmanga, ku Gezeri; n'enkomerero zaako zaali ku nnyanja.