Joshua 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwo bwe busika bw'abazzukulu ba Yozefu: Manasse ne Efurayimu bwe baafuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo abaana ba Yusufu: Manase ne Efulayimu ne batwala omugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazzukulu ba Yusufu abasibuka mu Efulayimu ne Manase, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga obutaka bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Yosefu, abasibuka mu Efurayimu ne Manasse, ne bafuna ekitundu ekyo kibeerenga kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Yusufu, Manase ne Efulayimu, ne batwala obusika bwabwe: