Joshua 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ziva e Tappuwa ensalo ne zisala ne ziraga ebugwanjuba ku Kiwonvu Kana, ne zikoma ku nnyanja. Obwo bwe busika ab'ekika ky'abazzukulu ba Efurayimu bwe baafuna mu masiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’eva ku Tappua n’eyita ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku mugga Kana n’ekoma ku nnyanja. Bino bye bitundu ekika ky’abaana ba Efulayimu bye baagabana ng’enju zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva e Tappua ensalo neyeyongera ebugwanjuba netuuka ku mugga Kana, neyeyongerayo n'ekoma ku nnyanja eyawakati. Buno bwe butaka bw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo n'egenda ebugwanjuba okuva ku Tappuwa, okutuuka ku Mugga Kaana, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Ekyo kye kitundu ekyaweebwa ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Efurayimu ebeerenga eyaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva mu Tappua ensalo n'eyita ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku mugga Kana n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja. Buno bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali;