Joshua 16:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwaliko era n'ebibuga n'ebyalo byabyo ebyayawulirwa bazzukulu ba Efurayimu mu busika bw'abazzukulu ba Manasse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku bino kwaliko ebibuga n’ebyalo byakwo byonna ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu abaali mu kitundu kya Manase ebibuga byonna n’ebyalo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wamu n'ebibuga ne byalo byabyo, ebyaweebwa abaana ba Efulayimu nga biri mu butaka bw'abaana ba Manase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wamu n'ebibuga n'ebyalo ebimu, ebyali mu kitundu kya bazzukulu ba Manasse, naye ekyaweebwa Abeefurayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wamu n'ebibuga ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu wakati mu busika obw'abaana ba Manase, ebibuga byonna n'ebyalo byabyo.