Joshua 17:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Guno gwe mugabo gw'ekika kya Manasse, omuggulanda wa Yozefu, oba ogwa Makiri, omuggulanda wa Manasse. Makiri ye yali kitaabwe w'abaasenga mu Gileyaadi. Baali baweereddwa Gileyaadi ne Basani, kubanga ab'essiga lya Makiri baali basajja batabaazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugabo ne guweebwa ekika kya Manase kubanga ye yali omubereberye owa Yusufu. Makiri omubereberye wa Manase era kitaawe wa Gireyaadi yaweebwa Gireyaadi ne Basani, era yali mulwanyi muzira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo akalulu ne kakubwa, ak'ekika kya Manase, kubanga oyo ye omwana wa Yusufu omubereberye. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, n'aweebwa Gireyaadi ne Basani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kalulu, ab'Ekika kya Manasse omwana wa Yosefu omuggulanda, ne baweebwa ekitundu kibe ekyabwe. Makiri, kitaawe wa Gileyaadi, era omwana wa Manasse omuggulanda, yali muzira mu ntalo kyeyava aweebwa Gileyaadi ne Basani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kano ke kaali akalulu ak'ekika kya Manase kubanga oyo ye yali omubereberye wa Yusufu. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, kyeyava alya Gireyaadi ne Basani: