Joshua 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ludda olw'emaserengeta nga wa Efurayimu, ate olw'emambuka nga wa Manasse. Kwe kugamba nti ekitundu kya Manasse nga kikoona ku nnyanja, emambuka ng'eriyo Aseeri, ate ebuvanjuba nga kisalagana ne Yissakari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu n’atwala oluuyi olw’omu bukiikaddyo ne Manase n’atwala oluuyi olw’omu bukiikakkono n’ensalo ye n’ekoma ku nnyanja mu bukiikakkono n’etuuka ku Aseri ate ebuvanjuba n’etuuka ku Isakaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu n'abeera ku ludda olw'obukiikaddyo, Manase n'abeera ku bukiikakkono, nga ebitundu byabwe bituuka ku nnyanja eyawakati ku luuyi olw'ebugwanjuba; ekitundu kyabwe ne kituuka ku Aseri ku bukiikakkono, ne Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Efurayimu yali ku ludda olw'ebukiikaddyo, Manasse n'aba ku ludda olw'ebukiikakkono, ng'Ennyanja Eyaawakati ye nsalo yaabwe mu bugwanjuba. Ne batuuka ku Aseri ku ludda olw'ebukiikakkono ku ludda olw'ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oluuyi olw'obukiika obwa ddyo Efulayimu n'alulya, n'oluuyi olw'obukiika obwa kkono Manase n'alulya, n'ennyanja yali nsalo ye; ne batuuka ku Aseri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ne ku Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba.