Joshua 17:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Yissakari ne mu Aseeri, Manasse yalinamu ebibuga: Beti-Sani n'obubuga bwakyo, Yibulewamu n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Dori n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Eni-Dori n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Taanaki n'obubuga bwakyo, abatuuze b'omu Megiddo n'obubuga bwakyo, n'ekyokusatu ekya Nafati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nsi ya Isakaali n’eya Aseri, Manase n’atwala Besuseani n’ebibuga byakyo ne Ibuleamu n’ebibuga byakyo n’abaali mu Endoli n’ebibuga byakyo n’abaali mu Doli n’abaali mu Taanaki n’ebibuga byakyo, n’abaali mu Megiddo n’ebibuga byakyo z’ensozi essatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kitundu kya Isakaali ne Aseri, Manase naafunayo; Besuseani n'ebyalo by'akyo, Ibuleamu n'ebyalo by'akyo, n'abatuuze be Endoli n'e byalo by'akyo, awamu n'abatuuze be Taanaki n'e byalo by'akyo, n'abatuuze be Megiddo n'e byalo by'akyo, ze nsozi essatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kitundu kya Yissakaari n'ekya Aseri, Manasse n'afunayo Beti Saani ne Yibuleyaamu, n'ebyalo ebibyetoolodde, ne Doori, ne Endori, ne Taanaki, ne Megiddo n'ebyalo ebibyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manase n'alya mu (nsi) ya Isakaali n'eya Aseri, Besuseani n'ebibuga byakyo, ne Ibuleamu n'ebibuga byakyo, n'abali mu Doli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Endoli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Taanaki n'ebibuga byakyo, n'abali mu Megiddo n'ebibuga byakyo, ze nsozi essatu.