Joshua 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Manasse tebaasobola kuwangula bibuga bino, kubanga Abakanaani baayagala okusigala mu kitundu kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani kubanga baali bamaliridde okusigala mu nsi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani mu bibuga ebyo, naye ne baatula wamu nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bazzukulu ba Manasse ne batasobola kugobamu bantu abaali mu bibuga ebyo. Kale Abakanaani ne bongera okubeera mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana ba Manase ne batayinza kugobamu (abaali mu) bibuga ebyo; naye Abakanani ne baagala okubeera mu nsi eyo.