Joshua 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayisirayeli bwe beeyongera amaanyi, ne bassa Abakanaani ku kasanvu, naye era tebaabagobaamu kubamalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe ab’okubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri ne bwe beeyongera amaanyi, ne batagobaamu Bakanani bonna, wabula ne babawalirizanga okubakolera emirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bwe beeyongera amaanyi, ne batagobaamu Bakanaani bonna, wabula ne babawalirizanga okubakolera emirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, abaana ba Isiraeri bwe baafuna amaanyi, ne bakoza Abakanani emirimu emiragire, ne batabagobera ddala.