Joshua 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yozefu ne bagamba Yoswa nti: “Lwaki ompadde omugabo gumu n'ekitundu kimu okuba obusika, sso ng'abantu bange bangi, sso nga n'Omukama n'okutuusa kati abadde akyampadde omukisa mungi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Yusufu ne boogera ne Yoswa nti, “Lwaki ffe otuwadde omugabo gumu n’ekitundu kimu ate nga tuli kika kinene? Mukama atuwadde nnyo omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazzukulu ba Yusufu ne bagamba Yoswa nti, “Lwaki otuwadde omugabo gumu gwokka ogw'ettaka okuba ogwaffe, ate nga Mukama yatuwa omukisa ne tuba bangi nnyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Yosefu ne bagamba Yoswa nti: “Lwaki otuwadde omugabo gumu gwokka ogw'ettaka okuba ogwaffe, ate nga Mukama yatuwa omukisa ne tuba bangi nnyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yusufu ne bagamba Yoswa, nga boogera nti Kiki ekikumpeesezza akalulu akamu kokka n'ekitundu ekimu okuba obusika, kuba ndi ggwanga ddene, kuba okutuuka leero Mukama yampanga omukisa?