Joshua 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'abaddamu nti: “Obanga abantu bo bangi bwe batyo, ate nga n'ensozi za Efurayimu nfunda ku ggwe, yambuka mu kibira weeyerulire ekitundu mu nsi y'Abaperizzi n'Abarefa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’abagamba nti, “Obanga muli kika kinene mugende mu nsi y’Abaperezi n’ey’Abalefa mwesaayire ekibira, ensi ey’ensozi eya Efulayimu nga bwe tebamala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'addamu nti, “oba nga muli bangi nnyo, ng'ensi ya Efulayimu ey'ensozi tebamala, mugende mu bibira mwesaayire omwo, mu nsi y'Abaperezi n'Abalefa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'addamu nti: “Oba nga muli bangi nnyo, ng'ensi ya Efurayimu ey'ensozi tebamala, mugende mu bibira mwesaayire omwo, mu nsi y'Abaperezi n'Abareefa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'abagamba nti Oba oli ggwanga ddene, golokoka ogende mu kibira, weesaayire omwo mu nsi ey'Abaperizi n'ey'Abalefa; kubanga ensi ey'ensozi ya Efulayimu ekufunza.