Joshua 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yozefu ne bamuddamu nti: “Ensi ey'ensozi tetumala, ate Abakanaani bonna abali mu nsenyi, balina ebigaali eby'ekyuma, abo abali mu Beti-Sani ne mu bubuga bwakyo, n'abo abali mu lusenyi lwa Yezureeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Yusufu ne bagamba nti, “Ensi ey’ensozi tetumala; ate nga Abakanani bonna abali mu nsi ey’ekiwonvu n’abali mu Besuseani n’ebibuga byakyo era n’abali mu kiwonvu eky’e Yezuleeri balina amagaali ag’ebyuma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Yusufu ne baddamu nti, Ensi ey'ensozi tetumala ate n'Abakanani bonna abali mu kitundu eky'ekiwonvu Besuseani n'ebibuga byakyo ne Yezuleeri, balina amagaali ag'ebyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu ba Yosefu ne baddamu nti: “Ne bwe tunaakola bwe tutyo, era ensi ey'ensozi tetumala. Ate tetusobola kusenga mu nsenyi kubanga Abakanaani abali mu Beti Saani n'ebyalo ebikyetoolodde, n'abo abali mu Kiwonvu ky'e Yezireeli, balina amagaali ag'ebyuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Yusufu ne boogera nti Ensi ey'ensozi tetumala: n'Abakanani bonna abali mu nsi ey'ekiwonvu balina amagaali ag'ebyuma, abo abali mu Besuseani n'ebibuga byakyo era n'abo abali mu kiwonvu eky'e Yezureeri.