Joshua 17:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ensi ey'ensozi ejja kubeera yiyo. Gyerule ogituusize ddala gy'ekoma, kubanga Abakanaani newandibadde nga balina ebigaali eby'ekyuma ate nga ba maanyi, ojja kusobola okubagobamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ensi ey’ensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali ag’ebyuma era nga baamaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago; kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi yonna ey'ensozi eneeba yammwe. Newaakubadde nga ya kibira, mujja kukisaawa, kibe kyammwe okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala, era Abakanaani mulisobola okugibagobamu newaakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma era nga ba maanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago: kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi.