Joshua 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Manasse abalala nabo baafuna kuno mu masiga gaabwe. Be bazzukulu ba Abiyezeri, aba Keleki, aba Asuryeli aba Sekemu, aba Keferi n'aba Semida. Abo be bazzukulu abalenzi aba Manasse, mutabani wa Yozefu, mu masiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era emigabo ne giweeba abaana ba Manase abalala nga bwe baali bazaalibwa mu buli maka. Omugabo gw’abaana ba Abiyezeeri, n’ogw’abaana ba Kereki n’abaana ba Asuliyeri n’ogw’abaana ba Sekemu, n’ogw’abaana ba Keferi, n’ogw’abaana ba Semida be baana bonna aboobulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng’amaka mwe baazaalibwa bwe gaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era obululu n'ebukubibwa eri abaasigalawo mu kika Manase, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali; Abiezeri ne Kereki, ne Asuliyeri, ne Sekemu, ne Keferi, ne Semida. Abo be bazzukulu ab'obulenzi aba Manase mutabani wa Yusufu, abakulu b'ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu kalulu, ekitundu eky'ebugwanjuba bwa Yorudaani ne kiweebwa ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Manasse abalala: Abiyezeeri, ne Heleki, ne Asuriyeeli, ne Sekemu, ne Heferi, ne Semida. Abo be bazzukulu ab'obulenzi aba Manasse mutabani wa Yosefu, abakulu b'ennyumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akalulu ak'abaana ba Manase abalala kaali ng'enda zaabwe bwe zaali; ak'abaana ba Abiezeri, n'ak'abaana ba Kereki, n'ak'abaana ba Asuliyeri, n'ak'abaana ba Sekemu, n'ak'abaana ba Keferi, n'ak'abaana ba Semida: abo be baana ab'obulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.