Joshua 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Zelofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gileyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manasse, teyalina baana ba bulenzi, yalina bawala beereere, nga be ba Makula, Nowa, Kogula, Miluka ne Tiruza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala; na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zelofehaadi mutabani wa Heferi, azaalibwa Gileyaadi, omwana wa Makiri, mutabani wa Manasse, teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala bokka. Amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa, ne Hogula, ne Milika, ne Tiruza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala ba bulenzi, wabula ab'obuwala: na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, ne Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza